Acts 26:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nti Kristu yali wa kubonaabona, ate olw'okubeera omubereberye mu kuzuukira mu bafu, alirangirira ekitangaala eri abantu n'eri ab'amawanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nti Kristo kimugwanira okubonaabona, era abeere omubereberye mu kuzuukira kw’abafu, alyoke aleetere abantu bano n’Abamawanga omusana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe kigwanira Kristo okubonyaabonyezebwa; era ye bw'alisooka mu kuzuukira kw'abafu okubuulira omusana abantu n'ab'amawanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baagamba nti Kristo ateekwa okubonyaabonyezebwa abe omubereberye mu kuzuukira, atuuse ku Bayudaaya ne ku b'amawanga amalala ekitangaala eky'obulokozi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne kigwanira Kristo okubonyaabonyezebwa; era ye bw’alisooka mu kuzuukira kw’abafu okubuulira omusana abantu n’ab’amawanga.