Acts 26:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Pawulo n'agamba nti: “Oweekitiibwa Festo, sinnalaluka. Bye njogera ge mazima era bigambo bya magezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo n’addamu nti, “Siraluse, Oweekitiibwa Fesuto. Ebigambo bye njogera bya nsonga era bya mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Pawulo n'agamba nti, “ Siraluse, Fesuto omulungi ennyo, naye njogera ebigambo eby'amazima n'eby'obuntu bulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'agamba nti: “Oweekitiibwa Festo, siraluse. Ebigambo bye njogera bya mazima era bya magezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Pawulo n'agamba nti Siraluse, Fesuto omulungi ennyo, naye njogera ebigambo eby'amazima eby'obuntu bulamu.