Acts 26:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'addamu nti: “Oba akabanga katono, oba kanene, si nsonga; kino kye nsaba Katonda nti: si ggwe wekka, naye n'abo bonna abampuliriza olwa leero, bafuuke nga nze bwe ndi, mpozzi okuggyako enjegere zino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo n’addamu nti, “Nsaba Katonda, mu kaseera katono oba mu kiseera kinene, ggwe ne bonna abampuliriza kaakano, bafuuke nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo n'addamu nti, Nsaba Katonda, mu kaseera katono, oba mu kiseera kinene, si ggwe wekka era naye ne bonna abampulira leero okufuuka nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'agamba nti: “Akaseera ne bwe kaba katono oba kanene, nze kye nsaba Katonda, si ggwe wekka naye n'abo bonna abampuliriza olwaleero, bafuuke nga nze, okuggyako okusibibwa kuno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo n'agamba nti Nandisabye Katonda olw'okusendasenda okutono oba okunene si ggwe wekka era naye ne bonna abampulira leero okufuuka nga nze awatali kusibibwa kuno.