Acts 26:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga omanyi bulungi empisa z'Abayudaaya zonna n'empaka zaabwe; kyenva nkwegayirira ompulirize n'obugumiikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga mmanyi ng’empisa z’Ekiyudaaya, zonna ozitegeera bulungi. Kyenva nkusaba ompulirize n’obugumiikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era okusinga kubanga omanyi empisa n'ebibuuzibwa byonna ebiri mu Bayudaaya: kyenva nkwegayirira ogumiikirize okumpuliriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'okusingira ddala kubanga omanyi bulungi empisa z'Abayudaaya, n'ebyo bye bawakanamu, n'enjawukana zaabwe. Kyenva nkwegayirira ompulirize n'obugumiikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era okusinga kubanga omanyi empisa n'ebibuuzibwa byonna ebiri mu Bayudaaya: kyenva nkwegayirira ogumiikirize okumpulira.