Acts 26:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka n'ayimuka, n'owessaza ne Berunike, era n'abalala bonna abaali batudde nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka, ne gavana ne Berenike, n’abalala bwe baali batudde, ne basituka ne bafuluma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kabaka n'owessaza ne Berenike n'abaali batudde awamu nabo ne basituka ne bafuluma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka, n'omufuzi, ne Berunike, n'abalala bonna, ne basituka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'agolokoka n'owessaza ne Berenike n'abaali batudde awamu nabo;