Acts 26:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe badda ebbali, ne bagambagana nti: “Omusajja oyo tewali ky'akola kimugwanyiza kufa oba kusibibwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe badda ebbali ne bakkiriziganya ne bagamba nti, “Omusajja ono talina ky’akoze kimusaanyiza kuttibwa wadde okusibwa mu njegere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baddayo eka, ne boogera bokka na bokka nga bagamba nti, “Omuntu ono takoze ekisaanidde okumussa oba okumusibya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baafuluma ne bagambagana nti: “Omuntu oyo takolanga kintu na kimu kimusaanyiza kufa oba kusibibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe baddayo eka, ne boogera bokka na bokka nga bagamba nti Omuntu ono takoze ekisaanidde okumussa oba okumusibya.