Acts 26:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Engeri gye nayisangamu okuva mu buvubuka olubereberye mu ggwanga lyange ne mu Yeruzaalemu emanyiddwa Abayudaaya bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nayigirizibwa n’obwegendereza mu mpisa z’Ekiyudaaya okuviira ddala mu buto bwange mu kibuga ky’ewaffe e Taluso ne mu Yerusaalemi, era ne ntambulira mu mpisa ezo obulamu bwange bwonna. Ebyo byonna Abayudaaya bonna babimanyi bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale empisa zange okuva mu buto ezaasooka okubeeranga mu ggwanga lyaffe ne mu Yerusaalemi, Abayudaaya bonna bazimanyi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abayudaaya bonna bamanyi obulamu bwange okuva mu buto. Bamanyi nga bwe nabeera okuva olubereberye nga ndi mu bantu bange, era ne bwe nali mu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale empisa zange okuva mu buto ezaasooka okubeeranga mu ggwanga lyaffe ne mu Yerusaalemi, Abayudaaya bonna bazimanyi;