Acts 27:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Basajja, ndaba ng'olugendo lujja kubeera lwa kabi n'okufiirwa kunene, si kwa bintu na lyato kyokka, naye n'obulamu bwaffe bwennyini.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’agamba nti, “Bassebo, ndaba nti olugendo lujja kubeeramu emitawaana n’okufiirwa kungi, si kwa bintu byokka n’ekyombo, naye n’obulamu bwaffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'abagamba nti, “Abasajja, ndaba nti olugendo luno lulibaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi si kwa bintu byokka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'agamba nti: “Bassebo, ndaba nti olugendo luno lujja kuba lwa kabi era lujja kuba lwa kufiirwa, si bintu byokka na lyato, wabula n'obulamu bw'abantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'abagamba nti Abasajja, ndaba nti olugendo luno lulibaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi si kwa bintu byokka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaffe.