Acts 27:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omwalo gwali tegumalikamu budde bwa butiti, abasinga obungi ne bateesa basitule okuva awo, omukisa nga gubakutte bagobe e Fenikisi, omwalo gwa Kureti ogutunuulidde ebugwanjuba mu mambuka n'ebugwanjuba mu maserengeta, bamalire awo obudde obw'obutiti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu mu kiseera ky’obutiti, abasinga obungi kyebaava basemba eky’okweyongerayo, nga basuubira nti obanga kisoboka tutuuke e Foyiniiki, we baba bamala ekiseera eky’obutiti ku mwalo gwa Kuleete ogwali gutunuulidde obukiikaddyo n’ebugwanjuba, n’obukiikakkono n’ebugwanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu omuyaga, abasinga obungi kyebaava basemba eky'okweyongerayo, oba nga kisoboka tutuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; gwe mwalo ogw'e Kuleete ogutunuulira wakati w'obukiika n'ebuvanjuba, ne wakati w'obukiika obulala n'ebuvanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate omwalo nga bwe gutaali mulungi kwewogomamu obudde obw'obutiti, ne basiima beeyongereyo, oba kisoboka batuuke e Foyiniiki, omwalo gw'e Kureete ogutunuulira wakati w'ebukiikakkono n'ebuvanjuba, ne wakati w'ebukiikaddyo n'ebuvanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu omuyaga, abamu bangi ne bateesa okuvaayo, mpozzi balyoke batuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; gwe mwalo ogw'e Kuleete ogutunuulira wakati w'obukiika n'ebuvanjuba, ne wakati w'obukiika obulala n'ebuvanjuba.