Acts 27:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empewo ez'emaserengeta bwe zaafuuwa empolampola, ne balowooza nti ky'ekyo kye babadde beetaaga; ne basitula ennanga, ne bavuga nga bakiiba Kureti nga bagoba olubalama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo empewo n’efuluma mu bukiikaddyo nga nzikakkamu, ne balowooza nti kye baali bagenderera bakifunye ne basikayo ennanga ne bagendera kumpi n’olukalu lwa Kuleete.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Empewo ez'omuggundu bwe zaakunta empola, ne balowooza nti bafunye kye babadde baagala, ne basimbula essika ne bayita kumpi nnyo ne Kuleete.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Empewo eziva mu bukiikaddyo bwe zaatandika okukunta, ne balowooza nti bafunye kye babadde beetaaga, ne basimbula eryato, ne baseeyeeya nga bagenda bayita kumpi ddala n'olubalama lwa Kureete.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empewo ez'omuggundu bwe zaakunta empola, ne balowooza nti bafunye kye babadde baagala, ne basimbula essiika ne bayita kumpi nnyo ne Kuleete.