Acts 27:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waayitawo ebbanga ttono, empewo ey'omuggundu eyitibwa Ewurakulo n'ebajjira ng'efuluma ku kizinga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye waali tewannayita bbanga ddene, omuyaga ogw’amaanyi ennyo oguyitibwa Ewulakulo, ne gukunta n’amaanyi mangi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye waali tewanayita bbanga ddene, omuyaga ogw'amaanyi ennyo oguyitibwa Ewulakulo ne gukunta,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka waayitawo ebbanga ttono, omuyaga ogw'amaanyi oguva mu bukiikakkono ne gukunta nga guva ku kizinga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oluvannyuma lw'ebiro si bingi omuyaga ogulimu kibuyaga ogwavaayo oguyitibwa Ewulakulo ne gukunta: