Acts 27:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wayita ennaku nnyingiko, ng'enjuba n'emmunyeenye tebirabikako, ng'omuyaga mungi gukunta, essuubi ery'okuwona ne liviibwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba wadde emunyeenye, gwo omuyaga nga gutuzunza n’amaanyi gaagwo gonna; olwo essuubi lyaffe lyonna ery’okuwona ne lituggweeramu ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba newakubadde emmunyeenye, gwo omuyaga nga gweyongera maanyi, era essuubi lyonna ery'okulokoka ne lituggwaamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo ennaku nnyingi ng'enjuba wadde emmunyeenye tebirabikako era nga n'omuyaga gwe tulimu muyitirivu, essuubi lyonna ery'okuwona ne lituggwaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era enjuba newakubadde emmunyeenye mu nnaku nnyingi nga tebyaka, era n'omuyaga si mutono ogwatukwata, oluvannyuma essuubi lyonna ery'okulokoka ne lituggwaamu.