Acts 27:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bamaze ebbanga ddene nga tewali mmere, Pawulo n'ayimirira wakati waabwe n'agamba nti: “Basajja, singa mwampuliriza ne mutava Kureti, tewandibaddewo kwonooneka na kufiirizibwa kuno.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baamala ebbanga nga n’okulya tebaagala kulya, Pawulo n’alyoka ayimirira wakati mu bo, n’abagamba nti, “Abasajja kyabagwanira okumpuliriza obutava Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n’okulumizibwa!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baamala ekiseera ekiwanvu nga tebalidde, awo Pawulo n'alyoka ayimirira wakati waabwe n'agamba nti, “ Kyabagwanira, abasajja, okumpuliriza obutava mu Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n'okulumizibwa!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala ebbanga eddene nga tebalya, Pawulo n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti: “Bassebo, singa mwampuliriza ne mutava Kureete, okwonoonekerwa kuno n'okufiirwa tekwandibaddewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Enjala bwe yali ennyingi, awo Pawulo n'alyoka ayimirira wakati waabwe n'agamba nti Kyabagwanira, abasajja, okumpulira obutava mu Kuleete, obutalaba kwonoonekerwa kuno n'okufiirwa.