Acts 27:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: ‘Pawulo, leka kutya, olina okuyimirira mu maaso ga Kayisari; laba, Katonda akuwadde abo bonna abasaabadde naawe.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’aŋŋamba nti, ‘Totya, Pawulo, kubanga kikugwanira okuyimirira mu maaso ga Kayisaali owozesebwe, era laba, Katonda akuwadde obuvunaanyizibwa ku abo bonna b’oli nabo mu kyombo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'agamba nti, ‘Totya, Pawulo; kikugwanidde okuyimirira mu maaso ga Kayisaali; era, laba, Katonda akuwadde bonna abagenda awamu naawe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
yayimiridde we ndi n'aŋŋamba nti: ‘Pawulo, totya, oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaari. Era ku lulwo Katonda ajja kukuuma n'abo bonna abali naawe mu lyato.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'agamba nti Totya, Pawulo; kikugwanidde okuyimirira awali Kayisaali; era, laba, Katonda akuwadde bonna abagenda awamu naawe.