Acts 27:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okutya nti twali tuyinza okutomera enjazi, ne basuula ennanga nnya ku luuyi lw'ekiwenda, ne basabirira obudde bukye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baatya okutomera enjazi ku lubalama ne basuula ennanga nnya emabega, ne basabirira obudde okukya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baatya okuseerera awali amayinja, ne basuula amasika ana (4) ku kiwenda ne balindirira bukye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatya okutomera olwazi, ne bassa ennanga nnya ku luuyi olw'ekitundu eky'emabega, ne balindirira obudde bukye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baatya okuseerera awali amayinja, ne basuula amasiika ana ku kiwenda ne balindirira bukye.