Acts 27:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagoba abamu baayagala okudduka mu lyato, ne bassa akaato ku nnyanja nga beekwasa nti bagenda kusuula nnanga ku luuyi lw'ensanda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku balunnyanja ne bateesa okwabulira ekyombo ne bassa akaato akeyambisibwa mu kabenje, nga beefuula ng’abagenda okusuula ennanga mu maaso g’ekyombo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalunnyanja bwe baali baagala okudduka mu kyombo ne bamala okussa akaato ku nnyanja nga beefuula ng'abagenda okusuula ennanga mu maaso g'ekyombo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abavuga eryato bwe baali bagezaako okudduka bave mu lyato, nga bamaze okussa akaato mu nnyanja nga beefuula ng'abagenda okusuula ennanga ku luuyi olw'ekitundu eky'omu maaso,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalunnyanja bwe baali baagala okudduka mu kyombo ne bamala okussa eryato mu nnyanja ng'abagenda okusuula amasiika ku nsanda,