Acts 27:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'agamba senturiyo n'abaserikale nti: “Abagoba bano bwe batasigala mu lyato temulina buwonero.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Pawulo n’agamba omukulu w’ekitongole n’abaserikale be nti, “Mwenna temujja kuwona okuggyako ng’abasajja bano basigala ku kyombo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo n'agamba omukulu w'abasserikale n'abasserikale be nti, “Abasajja bano bwe batasigala mu kyombo, mmwe temuuyinze kulokoka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'agamba abaserikale n'omukulu waabwe nti: “Abantu abo bwe bataasigale mu lyato, mmwe temuli ba kuwona.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo n'agamba omwami n'abaserikale nti Bwe bataabeere bano mu kyombo, mmwe temuuyinze kulokoka.