Acts 27:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde nga bukya, Pawulo n'abeegayirira bonna balye ku mmere, ng'agamba nti: “Luno olunaku lwa kkumi na nnya ng'emitima gibeewanise, awatali mmere, nga temulina ke mulidde;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo obudde bwali bunaatera okukya, Pawulo ne yeegayirira buli muntu alye ku mmere, ng’abagamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya nga mulindirira nga temulidde, ate era mukyeyongera obutalya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna okulya ku mmere, ng'agamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya (14) nga mulindirira nga temulya kantu konna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna balye ku mmere, ng'agamba nti: “Luno olunaku lwa kkumi na nnya nga mweraliikirira ne mutalya kantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna okulya ku mmere, ng'agamba nti Leero lunaku lwa kkumi na nnya ze mwakalindiririra nga musiiba ne mutalya kantu.