Acts 27:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale nno mbeegayiridde, mulye ku mmere; ejja kubazzaamu amaanyi, kasita tewajja kubeera luviiri na lumu luva ku mutwe gwa muntu n'omu ku mmwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mubeeko ke mulya, kubanga ekyo kye kijja okubalokola so tewaabe n’omu ku mmwe anaavibwako luviiri lwe ku mutwe gwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyenva mbeegayirira okulya ku mmere: kubanga okwo kunaabalokola: kubanga tewaabule luviiri ku mitwe gyammwe n'omu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbeegayirira mulye, muleme okufa enjala. Era tewali kabi kanaabatuukako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenva mbeegayirira okulya ku mmere: kubanga okwo kunaabalokola: kubanga tewaabule luviiri ku mitwe gyammwe n'omu.