Acts 27:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yasirissa ebyo, n'akwata omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso ga bonna, n'agumenyamu, n'atandika okulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’addira omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso gaabwe bonna, n’amenya omugaati n’alya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamala okwogera bwatyo n'addira omugaati, ne yeebaliza Katonda mu maaso ga bonna n'agumenyamu n'atandika okulya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okwogera ebyo, n'atoola omugaati ne yeebaza Katonda nga bonna balaba, n'agumenyaamenyamu, n'atandika okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamala okwogera bwatyo n'addira omugaati, ne yeebaliza Katonda mu maaso ga bonna n'agumenyamu n'atanula okulyako.