Acts 27:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne tusitula okuva awo, ne tuvuga nga tuyita kumpi ne Kupuro; kubanga empewo zaali zituva mu maaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe twasitula, empewo n’etufuluma mu maaso, ne tusaabala ne tuyita ku mabbali ga Kupulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne tuvaayo ne tusaabala nga tuyita ku mabbali ga Kupulo kubanga omuyaga gwali gutuli bubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twavaayo ne tuyita ku mabbali ga Kipuro olw'okwebalama omuyaga ogwali gutuva mu maaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne tuvaayo ne tuyita ku mabbali ga Kupulo kubanga omuyaga gwali gutuva mu bwengula.