Acts 27:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baayingirira ekyereero, eryato ne balitomeza, ensanda n'eyingira muli, n'esikkattira nga tekyenyeenya, ekiwenda ne kimenyekamu olw'amaanyi g'amayengo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekyombo ne kyeggunda mu musenyu engezi ebbiri we zaali zisisinkana, ekitundu eky’omu maaso ne kiwagamira mu musenyu nga tekinyeenya, eky’emabega ne kisigala wabweru waggulu, ng’amayengo ag’amaanyi gakikuba, era ne kitandika okumenyekamenyeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe baatuuka mu kifo amayengo abiri (2) we gaasisinkana, ne baseeza ekyombo; ensanda n'eseera n'enywera n'etanyeenya, naye ekiwenda ne kizibukuka n'amaanyi g'amayengo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka bwe baatuuka mu kifo engezi we zisisinkanira, eryato ne litubira mu musenyu. Ekitundu eky'omu maaso ne kiyingira muli ne kinywera, ne kitasobola kunyeenya. Ekitundu eky'emabega ne kitandika okwabika olw'amaanyi g'amayengo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe baatuuka mu kifo amayengo abiri we gaasisinkana, ne baseeza ekyombo; ensanda n'eseera n'enywera n'etanyeenya, naye ekiwenda ne kizibikuka n'amaanyi g'amayengo.