Acts 27:43 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye senturiyo olw'okwagala okuwonya Pawulo, n'abagaana okutuukiriza ekirowoozo kyabwe. N'alagira abasobola okuwuga be baba basooka okwesuula mu nnyanja bagobe ettale,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olwokubanga Yuliyo yayagala okuwonya Pawulo, amagezi ago n’agagaana. Awo n’alagira buli muntu asobola okuwuga awuge alage ku lukalu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kubanga omukulu w'abasserikale yayagala okuwonya Pawulo, n'abaziyiza okukola kye baali bateesezza. Awo n'alagira abasobola okuwuga bawuge batuuke ku lukalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omukulu w'abaserikale n'abaziyiza olw'okwagala okuwonya Pawulo. Awo n'alagira abasobola okuwuga be baba basooka okwesuula mu mazzi bawuge batuuke ku lukalu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omwami bwe yayagala okuwonya Pawulo, n'abaziyiza okukola kye bateesezza; n'alagira abaayinza okuwuga okwesuulamu basooke okutuuka ku ttale;