Acts 27:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abasigaddewo, abamu bagendere ku mbaawo, abalala ku bitundutundu by'eryato. Bonna bwe batyo ne batuuka ku lukalu nga bawonye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abo abatasobola kuwuga bagezeeko okweyambisa ebitundutundu by’embaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo buli muntu n’atuuka bulungi ku lukalu nga taliiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abaali tebasobola kuwuga ne bagezaako okweyambisa ebitundutundu by'embaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo bwe batyo bonna ne batuuka ku lukalu bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abalala bagoberere nga batwalirwa ku mbaawo ne ku bitundutundu by'eryato. Bwe batyo bonna ne batuuka ku lukalu nga balamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abalala abaasigalawo, abamu ku mpero, n'abamu ku bintu by'ekyombo. Awo bwe batyo bonna ne batuuka ku ttale emirembe.