Acts 27:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga olwo nga liyiseewo ddene, nga n'okuwunguka kumaze okuba okw'akabi, n'okusiiba nakwo nga kumaze okuyita, Pawulo n'abalabula nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo ebbanga ddene, n’obudde nga butandise okwonoonekera ddala, era nga kyakabi okwolekera olugendo, ate era nga n’ekisiibo kyayita dda, Pawulo n’abawa amagezi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe waayitawo ebbanga ddene, nga n'obudde bweyongera kwonoonekera ddala, nga okusaabala ku nnyanja kyakabi, nga ne nnaku ez'Okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku nnyingi bwe zaayitawo nga n'olugendo lw'ennyanja lufuuse lwa kabi, kubanga n'ennaku ez'okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe waayitawo ebiro bingi, obubi bwali bumaze okubaawo okugenda mu nnyanja kubanga ennaku ez'Okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula