Acts 28:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ne batugulumiza n'ekitiibwa kinene. Ate bwe twali tusaabala, ne batikkako byonna bye twali twetaaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batuwa ebirabo bingi, era ekiseera kyaffe eky’okusaabala ku nnyanja bwe kyatuuka, ne batuleetera ebintu bingi ku kyombo bye twali twetaaga okukozesa mu lugendo lwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era abo ne batuwa ekitiibwa kinene; bwe twali tuvaayo ne baleeta ku kyombo ebintu bye twetaaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batuwa ekitiibwa kinene. Bwe twatuusa okusaabala okuvaayo ne batuleetera byonna bye twali twetaaga mu lugendo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era abo ne batuwa ekitiibwa kinene; bwe twali tuvaayo ne baleeta ku lyato ebintu bye twetaaga.