Acts 28:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda abali eyo bwe baatuwulira, ne bajja okutuukira ddala ku Mbuga ya Appiyo ne ku Migiini Esatu. Pawulo bwe yabalabako, ne yeebaza Katonda, n'addamu omwoyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda abaali eyo bwe baawulira ebyatutuukako, ne bajja okutusisinkana mu Katale ka Apiya ne ku Bisulo Ebisatu. Pawulo bwe yabalaba ne yeebaza Katonda era n’aguma omwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'oluganda bwe baawulira ebigambo byaffe ne bavaayo okutusisinkana mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu: Pawulo bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n'aguma omwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda ab'omu Rooma bwe baawulira, ne bajja ku katale ka Apiyo ne ku Bisulo Ebisatu okutusisinkana. Pawulo bwe yabalaba, ne yeebaza Katonda, era n'aguma omwoyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'oluganda bwe baawulira ebigambo byaffe ne bavaayo okutusisinkana mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu: Pawulo bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n'aguma omwoyo.