Acts 28:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku essatu bwe zaayitawo, n'ayita abakulu b'Abayudaaya, ne bakuŋŋaana, n'abagamba nti: “Basajja abooluganda, nze newandibadde nga siriiko kibi kye nakolera bantu, era nga soonoonanga ku mpisa za bajjajjaffe, naye era nasibirwa e Yeruzaalemu ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaroma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nga wayiseewo ennaku ssatu, Pawulo n’ayita abakulembeze b’Abayudaaya. Bwe baakuŋŋaana n’ayogera nabo nti, “Abasajja baganda bange, Abayudaaya bankwatira bwereere mu Yerusaalemi, ne bampaayo mu Baruumi, so nga sirina ky’ensobezza ku bantu, wadde ku mpisa z’abajjajjaffe wadde obulombolombo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ayita abakulu b'Abayudaaya: bwe baamala okukuŋŋaana n'abagamba nti, “Ab'oluganda, newakubadde nga saakola kibi ku bantu newakubadde ku mpisa za bajjajjaffe, naye nnasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaruumi mu Yerusaalemi:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo ennaku ssatu, Pawulo n'ayita abakulu b'Abayudaaya abaali mu Rooma bakuŋŋaane. Bwe baakuŋŋaana, n'abagamba nti. “Abooluganda, newaakubadde nga sirina kibi kye nakola ggwanga lyaffe, wadde okusobya empisa ze twafuna okuva ku bajjajjaffe, nasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abarooma mu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ayita abakulu b'Abayudaaya: bwe baamala okukuŋŋaana n'abagamba nti Nze, abasajja ab'oluganda, newakubadde nga saakola kibi ku bantu newakubadde ku mpisa za bajjajjaffe, naye nnasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaruumi mu Yerusaalemi: