Acts 28:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayudaaya ne bakikaayanako; ekyo kye kyansindika okujulira eri Kayisari, newandibadde nga saalina kintu kye nvunaana ggwanga lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abayudaaya bwe baagaana okukkiriza ensala eyo, ne mpalirizibwa okujulira ewa Kayisaali, newaakubadde nga saaliko kye mpawaabira bantu ba ggwanga lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abayudaaya bwe baagaana, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali, si ng'alina ekigambo okuloopa eggwanga lyaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Abayudaaya bwe baakiwakanya, ne mpalirizibwa okujulira eri Kayisaari, newaakubadde nga saalina kye nvunaana ggwanga lyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abayudaaya bwe baagaana, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali, si ng'alina ekigambo okuloopa eggwanga lyaffe.