Acts 28:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannansi b'okwo ne batugirira ekisa ekitasangika; baakuma omuliro, ne batusembeza ffenna, kubanga enkuba yali etandiikiriza okutonnya n'obudde nga bunnyogoga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannansi b’oku kizinga baatulaga ekisa kingi ekitali kya bulijjo, ne bakuma omuliro ne twota, kubanga obudde bwali bwa butiti nga n’enkuba etandise okutonnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu b'okukizinga ekyo baatulaga ekisa ekitali kya bulijjo, kubanga baakuma omuliro, ne batusembeza fenna, nga ne mpewo nnyingi ate nga n'enkuba yali etandise okutonnya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bannansi baakwo baatukwatirwa ekisa ekitali kya bulijjo, kubanga enkuba yali etandise okutonnya, nga n'obudde bwa butiti, ne batukumira omuliro, ne batwaniriza ffenna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bannaggwanga ne batukola obulungi obutali bwa bulijjo: kubanga baakuma omuliro, ne batusembeza fenna olw'enkuba eyatonnya n'olw'empewo.