Acts 28:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo nno, kyenvudde njagala okubalaba n'okwogerako nammwe, kubanga lwa kubeera ssuubi lya Yisirayeli kyenvudde nsibibwa olujegere luno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mbayise wano tumanyagane era twogeraganye. Olw’essuubi lya Isirayiri, kyenvudde nsibibwa n’olujegere luno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale olw'ensonga eyo mbayise okundaba n'okwogera nange: kubanga olw'essuubi lya Isiraeri nsibiddwa n'olujegere luno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale olw'ensonga eyo, mbayise mbalabe era njogereko nammwe, kubanga nsibiddwa mu njegere zino, olw'oyo abantu ba Yisirayeli gwe basuubira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale olw'ensonga eyo mbayise okundaba n'okwogera nange: kubanga olw'essuubi lya Isiraeri nsibiddwa n'olujegere luno.