Acts 28:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bamugamba nti: “Ffe tetufunanga bbaluwa eva mu Buyudaaya ekwogerako, yadde omu ku booluganda abajja kuno akwogeddeko bubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Tetufunanga ku bbaluwa ziva mu Buyudaaya nga zikwogerako, wadde baganda baffe okubaako bye batutegeeza ku ggwe nga bibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bo ne bamugamba nti, “ Ffe so tetuweebwanga bbaluwa za bigambo byo okuva mu Buyudaaya, so tewali ku b'oluganda eyali azze n'atubuulira oba n'ayogera ekigambo ekibi ku ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bo ne bamugamba nti: “Tetufunanga bbaluwa n'emu kuva Buyudaaya ekwogerako, wadde omu ku booluganda okujja okutubuulira, oba okwogera ekibi ku ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bo ne bamugamba nti Ffe so tetuweebwanga bbaluwa za bigambo byo okuva mu Buyudaaya, so tewali ku b'oluganda eyali azze n'atubuulira oba n'ayogera ekigambo ekibi ku ggwe.