Acts 28:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno twandyagadde okuwulira ggwe ky'olowooza. Anti kye tumanyi ku kibiina kino kye kino, nti kyogerwako bubi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka twagala okuwulira ebirowoozo byo ku kibiina ekyo, kubanga tumanyi nti buli wamu teriiyo gw’owulira ng’akyogerako bulungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye twagala okuwulira okuva gy'oli by'olowooza: kubanga enzikiriza eno, tumanyi nti bagiwakanya wonna wonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye twandyagadde okumanya ggwe by'olowooza, kubanga tumanyi nti buli wantu ekibiina ekyo bakiwakanya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye twagala okuwulira okuva gy'oli by'olowooza: kubanga ebigambo by'enzikiriza eno, tumanyi nti kiwerebwa wonna wonna.