Acts 28:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okumulagaanya olunaku, ne bajja bangi gy'ali mu nnyumba gye yali asulamu. N'abannyonnyola ebintu ng'abategeeza obwakabaka bwa Katonda okuva ku makya okutuusa akawungeezi, ng'afuba okubakkirizisa Yezu ng'ayima ku Tteeka lya Musa n'Abalanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bategeka olunaku, era ku olwo abantu ne bajja bangi, mu kifo we yasulanga. N’abannyonnyola ng’ajulira obwakabaka bwa Katonda, n’abategeeza ku Yesu, nga byonna abyesigamya ku mateeka ga Musa ne ku bannabbi. Yatandika ku nkya n’amala akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamulaga olunaku ne bajja bangi gy'ali mu kisulo; n'abannyonnyola ng'ategeeza obwakabaka bwa Katonda, era ng'abakkirizisa ebigambo bya Yesu mu mateeka ga Musa ne mu bya bannabbi okuva ku makya okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamulagaanya olunaku olulala, era ku olwo ne bajja bangi mu nnyumba mwe yasulanga. N'abannyonnyola ng'abategeeza eby'Obwakabaka bwa Katonda, era n'anyiikira okubakkirizisa Yesu ng'ajuliza eby'omu Mateeka agaaweebwa Musa, n'ebyawandiikibwa abalanzi. Ekyo yakikola okuva enkya okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamulaga olunaku ne bajja bangi gy'ali mu kisulo; n'abannyonnyola ng'ategeeza obwakabaka bwa Katonda, era ng'abakkirizisa ebigambo bya Yesu mu mateeka ga Musa ne mu bya bannabbi okusooka enkya okutuusa akawungeezi.