Acts 28:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wabaawo obutakkaanya; ne baabuka; naye Pawulo ng'ayogedde kino nti: “Wamma Mwoyo Mutuukirivu yali mutuufu, bwe yagamba bajjajjammwe, ng'ayita mu mulanzi Yisaaya nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nga balemeddwa okukkiriziganya, Pawulo n’abasiibuza ebigambo bino nti, “Mwoyo Mutukuvu yali mutuufu bwe yayogera eri bajjajjammwe ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe balemwa okukwatagana ne bagenda, nga Pawulo amaze okwogera ekigambo kino nti, “ Omwoyo Omutukuvu yagamba bulungi bajjajjammwe mu kitabo kya nnabbi Isaaya
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne balemwa okukkiriziganya, ne baabuka nga Pawulo amaze okubagamba kino nti: “Mwoyo Mutuukirivu yali mutuufu bwe yagamba bajjajjammwe ng'ayita mu mulanzi Yisaaya eyagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bataatabagana bokka na bokka, ne bagenda, Pawulo bwe yamala okwogera ekigambo kimu, nti Omwoyo Omutukuvu yagamba bulungi bajjajjammwe mu nnabbi Isaaya