Acts 28:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti: okuwulira muliwulira, naye temulitegeera; okulaba muliraba, naye temulyetegereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti, Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera n’okulaba muliraba naye temulyetegereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'agamba nti,” “ ‘Genda eri abantu bano, oyogere nti Okuwulira muliwulira, ne mutategeera; Okulaba muliraba, ne muteetegeereza
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Genda eri abantu abo obagambe nti: Weewaawo muliwulira, naye temulitegeera. Weewaawo mulitunula, naye temulyetegereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'agamba nti Genda eri abantu bano, oyogere nti Okuwulira muliwulira, ne mutategeera; Okulaba muliraba, ne muteetegeereza: