Acts 28:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannansi bwe baalaba ng'ekintu kirebeetera ku mukono gwe, ne bagambagana nti: “Mazima omusajja ono mutemu; newandibadde ng'awonye ennyanja, mu bwenkanya takkiriziddwa kulama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baalaba ekintu ekireebeeta ku mukono gwa Pawulo ne bagambagana nti, “Ddala oyo mutemu. Newaakubadde ng’ennyanja yagiwonye, naye era omusango gukyamulondoola teguumuganye kulama!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu b'okukizinga bwe baalaba ekyekulula nga kireebeetera ku mukono, ne bagamba bokka na bokka nti, “ Mazima omuntu ono mussi; newakubadde awonye okufiira mu nnyanja, omusango tegumuganya kubeera mulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bannansi bwe baalaba ng'omusota guleebeetera ku mukono gwe, ne bagambagana nti: “Mazima omuntu ono mutemu. Newaakubadde awonye ennyanja, omuwoolezi w'eggwanga tamuganya kubeera mulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bannaggwanga bwe baalaba ekyekulula nga kireebeetera ku mukono, ne bagamba bokka na bokka nti Mazima omuntu ono mussi; newakubadde ng'alokose mu nnyanja, omusango tegumuganya kubeera mulamu.