Acts 28:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamulindirira okuzimbagatana oba okugwa eri afe amangu ago. Naye bwe baalwawo nga balindirira, ne balaba nga tewali kabi kamujjidde, ne beefukulula, ne bagamba nti yali lubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ne balindirira balabe bw’atandika okuzimba oba okugwa eri afiirewo, naye bwe baalindiririra ebbanga eddene nga tebamulabako kamogo, ne baddamu okwerowooza, ne bagamba nti, “Oyo katonda!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bali ne balowooza nti anaazimba oba anaasinduka, okugwa eri nga mufu: naye bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira ne batalaba kibi ky'abaddeko, ne bakyuka ne bagamba nti, “ katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bannansi ne balinda, nga balowooza nti anaazimba oba nti ajja kugwa awo afiirewo. Bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira, ne batalaba kabi kamubaddeko, ne beefukulula, ne bagamba nti: “Ono lubaale.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bali ne balowooza nti anaazimba oba anaasinduka, okugwa eri nga mufu: naye bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira ne batalaba kibi ky'abaddeko, ne bakyuka ne bagamba nti katonda.