Acts 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yali akyekutte ku Petero ne Yowanna, abantu bonna ne bajja bunnambiro gye bali ku kisasi ekiyitibwa ekya Solomoni, nga bawuniikiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omusajja eyali omulema bwe yali ng’akyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yali ng'akyekutte ku Peetero ne Yokaana, ekibiina kyonna ne kijja gye baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi ekiyitibwa ekya Sulemaani nga beewuunya nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yali akyekutte ku Peetero ne Yowanne, abantu bonna ne basamaalirira, ne badduka ne bagenda awali Peetero ne Yowanne ku kifugi ekiyitibwa ekya Solomooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali ng'akyekutte Peetero ne Yokaana, ekibiina kyonna ne baddukana gye baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi ekiyitibwa ekya Sulemaani nga beewuunya nnyo.