Acts 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero bwe yalaba, n'agamba abantu nti: “Basajja Abayisirayeli, lwaki kino mukyewuunya? Lwaki mututunuulira kyenkana nga ffe tutambuzizza ono n'amaanyi gaffe, oba olw'obutuukirivu bwaffe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Peetero bwe yabalaba n’agamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ng’abagamba nti obulungi bwaffe n’obuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Peetero bwe yabalaba n'abagamba nti, “ Abasajja Abaisiraeri, Lwaki mwewuunya olwa kino? Mutwekaliririza ki amaaso? Mulowooza nti amaanyi gaffe ffe oba kutya kwaffe Katonda bye bimutambuzizza oyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero bwe yabalaba, n'abagamba nti: “Abasajja Abayisirayeli, lwaki kino kibeewuunyisa? Lwaki mututunuulira bwe mutyo? Mulowooza nti buyinza bwaffe, oba bulungi bwaffe mu maaso ga Katonda bye bisobozesezza ono okutambula?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Peetero bwe yalaba n'addamu ekibiina nti Abasajja Abaisiraeri, kiki ekibeewuunyisa bino? Mutwekaliririza ki amaaso ng'amaanyi gaffe ffe oba kutya kwaffe Katonda bye bimutambuzizza oyo?