Acts 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda wa Yiburayimu ne Yizaake ne Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, yagulumiza omuweereza we Yezu, mmwe gwe mwawaayo ne mumwegaana mu maaso ga Pilato, nga ye ayagala okumuta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda wa Ibulayimu era owa Isaaka era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mumwegaanira mu maaso ga Piraato, bwe yamalirira okumuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda wa Aburahamu, era owa Yisaaka, era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, ye agulumizizza omuweereza we Yesu, mmwe gwe mwawaayo era ne mumwegaanira mu maaso ga Pilaato, eyali asazeewo okumuta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda wa Ibulayimu era owa Isaaka era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, yagulumiza Mulenzi we Yesu, gwe mwawaayo ne mumwegaanira mu maaso ga Piraato, bwe yamalirira okumuta.