Acts 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate erinnya lye, olw'okukkiriza mu linnya lye, kyerivudde liwa amaanyi gwe mulabye era gwe mumanyi; okukkiriza okwo okuva mu ye kwe kuwadde ono okuddirawo ddala mu maaso gammwe mwenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olw'okukkiriza erinnya lye; oyo gwe mulaba gwe mumanyi erinnya lye limuwadde amaanyi, n'okukkiriza okuli mu oyo kumuwadde obulamu buno obutuukiridde mu maaso gammwe mwenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obuyinza bwa Yesu oyo bwe buwadde amaanyi omuntu ono gwe mulaba era gwe mumanyi, era okwesiga Yesu kwe kuleetedde omuntu ono okuwonera ddala nga mwenna bwe mulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olw'okukkiriza erinnya lye oyo gwe mulaba gwe mumanyi erinnya lye limuwadde amaanyi, n'okukkiriza okuli mu oyo kumuwadde obulamu buno obutuukiridde mu maaso gammwe mwenna.