Acts 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne wabaawo omusajja eyava munda ya nnyina nga mulema, eyali asituddwa. Buli lunaku baamussanga ku mulyango gw'Ekiggwa oguyitibwa Omulungi, asabirize ku bayingira mu Kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waaliwo omuntu omulema okuva mu lubuto lwa nnyina eyasitulibwanga, gwe baateekanga bulijjo ku luggi lwa Yeekaalu olwayitibwanga Olulungi, okusabanga effeeza abaayingiranga mu Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku luggi olw'Essinzizo oluyitibwa Olulungi, waaliwo omusajja eyali omulema okuviira ddala lwe yazaalibwa. Buli lunaku baamuteekanga awo ku luggi asabirize ensimbi ku bantu abaayingiranga mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waaliwo omuntu omulema okuva mu lubuto lwa nnyina yali asituliddwa, gwe baateekanga bulijjo ku luggi lwa yeekaalu olwayitibwanga Olulungi, okusabanga effeeza abaayingiranga mu yeekaalu.