Acts 3:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yagamba nti: ‘Omukama Katonda wammwe alibasitusiza okuva mu baganda bammwe omulanzi nga nze; mumuwuliranga mu byonna by'alibagamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga byonna by'alibagamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa yagamba nti: ‘Mukama Katonda alibatumira omulanzi aliva mu baganda bammwe, nga bwe yabatumira nze. Mumuwuliranga mu byonna by'alibagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa yagamba nti Mukama Katonda alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga byonna by'alibagamba.