Acts 3:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe baana b'abalanzi n'ab'ekiragaano Katonda kye yakuba ne bajjajjaffe, ng'agamba Yiburayimu nti ‘Mu zzadde lyo ebika byonna eby'ensi biriweebwa omukisa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe muli baana ba bannabbi, era ab'endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe, ng'agamba Ibulayimu nti, ‘Ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'ensi mwe biriweerwa omukisa.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo Katonda bye yasuubiza ng'ayita mu balanzi, byammwe. Era n'endagaano gye yalagaana ne bajjajjammwe, yakolerwa mmwe. Yagamba Aburahamu nti: ‘Mu bazzukulu bo, amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe muli baana ba bannabbi, era ab'endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe, ng'agamba Ibulayimu nti Ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'ensi mwe biriweerwa omukisa.