Acts 3:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda bwe yamala okuzuukiza Omwana we, yasooka kumutumira mmwe, abawe omukisa, buli muntu amuggye mu ngeri ze embi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusooka gye muli Katonda, bwe yamala okuzuukiza omuweereza we n'amutuma gye muli abawe omukisa, ng'akyusa buli muntu mu bibi byammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Katonda bwe yalonda omuweereza we, yasooka kumutumira mmwe, abawe omukisa ng'abakyusa mwenna okuva mu bibi byammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusooka gye muli Katonda, bwe yamala okuzuukiza Mulenzi we n'amutuma gye muli abawe omukisa, ng'akyusa buli muntu mu bibi byammwe.