Acts 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero n'amugamba nti: “Ffeeza ne zaabu sibirina; naye nkuwa kye nnina; mu linnya lya Yezu ow'e Nazareti tambula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Peetero n’agamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Peetero n'agamba nti, “ Effeeza ne zaabu sibirina; naye kye nnina kye nkuwa: mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, tambula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero n'amugamba nti: “Ensimbi sirina n'akatono, naye kye nnina kye nnaakuwa. Mu linnya lya Yesu Omunazaareeti nkulagira, tambula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Peetero n'agamba nti Effeeza ne zaabu sibirina; naye kye nnina kye nkuwa: mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, tambula.