Acts 4:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baba bakyayogera eri abantu, ne bajjirwa bakabona n'omukuumi w'Ekiggwa n'Abasaddukaayo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Peetero ne Yokaana bwe baali nga boogera n'ekibiina, bakabona n'omukulu wa Yeekaalu n'Abasaddukaayo ne bajja gye baali,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Peetero ne Yowanne bwe baali bakyayogera n'ekibiina ky'abantu, bakabona n'omukulu w'abakuumi b'Essinzizo, wamu n'Abasaddukaayo, ne bajja gye bali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali nga boogera n'ekibiina, ne bajja gye baali bakabona n'omukulu wa yeekaalu n'Abasaddukaayo,