Acts 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mumanye mwenna abantu ba Yisirayeli, nti lwa linnya lya Yezu Kristu ow'e Nazareti, gwe mwakomerera ku musaalaba, naye Katonda gwe yazuukiza mu bafu, olw'okubeera oyo ono kyavudde ayimirira wano mu maaso gammwe nga yenna mulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kisaanye kitegeerekeke eri mwenna n'eri abantu bonna mu Isiraeri nti, mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, gwe mwakomerera mmwe, Katonda gwe yazuukiza mu bafu, ku bw'oyo ono ayimiridde nga mulamu mu maaso gammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale abantu ba Yisirayeli bonna, era nammwe mwenna musaana mumanye nti obuyinza bwa Yesu Kristo Omunazaareeti, mmwe gwe mwakomerera ku musaalaba, ate Katonda n'amuzuukiza, bwe buyimirizza omuntu ono wakati mu mmwe nga mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mutegeere mwenna n'ekibiina kyonna eky'Abaisiraeri nti mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, gwe mwakomerera mmwe, Katonda gwe yazuukiza mu bafu, ku bw'oyo ono ayimiridde nga mulamu mu maaso gammwe.