Acts 4:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era mpaawo n'omu muva bulokofu, kubanga tewali linnya ddala wansi w'eggulu eryali lituumiddwa mu bantu mwe tulina kulokolerwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye yekka ye ayinza okulokola abantu, kubanga mu nsi yonna tewali mulala Katonda gwe yawa linnya liyinza kutulokola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.